Ebyobusika
4.1 and up
Android OS
About Ebyobusika
Amateeka G’okugabanya Ebyobusika mu Busiraamu
Amatendo amajjuvu gonna ga Katonda eyatonda
obulamu n’okufa n’awa abantu ebyobugagga ebyenjawulo era n’agera nti byakugendanga bikyusa
emikono okutuusa Ye lw’alibyeddiza. Okusaasira
n’emirembe bibeere ku Nnabbi waffe Muhammadi
eyannyonnyola eddiini n’alagirira engeri amateeka
gye galina okugobererwamu nga mwe muli n’agookugabanya ebyobugagga omufu by’aba alese.
Ekigendererwa mu yirimu y’ebyobusika, kwe
kumanya abo abalina okugabana ku bintu omufu
by’aba alese n’engeri buli omu gy’agabanamu. Yirimu eno nkulu nnyo wadde nga abantu bagitwala
okuba emu ku zisinga obuzibu n’obutategeerekeka.
Ensonga egifuula enzibu kwe kuba nga tejjumbirwa
nnyo, ate nga mulimu okubala wadde nga kutonotono. Engeri y’okussa emiwendo ku byobugagga
ebyenjawulo nayo ereetamu okusoomooza, okwo
kw’ossa basseeka be kikwatako obutalaga bantu
migaso egigirimu n’obukulu bwayo.
Mu kitabo kino ngezezzaako okugonza awatera
okukaluba, ne nneewala nnyo n’okubala we kiteetaagisa era ne mpa ebyokulabirako okugondeza
omusomi bye ndowooza nti biyinza okumukaluubiriza. Ebiba bitategeerekese bulungi nsuubira nti
basseeka abeesigika bajja kubirandululira abagobe-
ix
rezi baabwe. Nsuubidde nti ekitabo kino era kijja
kugasa mu ngeri endala nnya:
1. Abagabana okumanya emigabo gye balina
okufuna n’okwetaba mu kugabanya ebyobugagga
omufu by’aba alese nga balinako kye bamanyi.
2. Okuyamba ku bagenda okugabanya ebyobusika abagabana baleme kubalowoolezaamu kwekubiira.
3. Okusobozesa omuntu okumanya abantu abaligabana ku bintu by’alireka olwo aleme kubalaamira
ku byabugagga kubanga, nga bwe tujja okukiraba,
anaasika tebamulaamira.
4. Okusobozesa omuntu okumanya abataligabana asobole okubawa, nga akyali mulamu, bye
yaaliyagadde bafune oba okubalaamira by’abeera
ayagadde ebitasukka 1/3
What's new in the latest 1.0
Ebyobusika APK Information
Super Fast and Safe Downloading via APKPure App
One-click to install XAPK/APK files on Android!